Amawulire

Abébyókwerinda bakusindika embwa ezikonga olusu okuyigga abatemu e Masaka

Abébyókwerinda bakusindika embwa ezikonga olusu okuyigga abatemu e Masaka

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatwala ebyokwerinda mu ggwanga lino bakkiriziga bukuyege okwongera okusindika embwa ezikonga olusu okuyigga abatemu bebijjambiya abali mu kutta abantu mu bitundu byobwagagavu bwa Masaka.

Bino byogeddwa minisita omubeezi owensonga ezomunda mu ggwanga General David Muhoozi bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akebyokwerinda akakulemberwa omubaka omukyala owa disitulikiti ye Sheema Rose Mary Nyakikongolo.

Muhoozi ategezeza ababaka nti abantu 69 bebakakwatibwa ku byekuusa kuttemu lino. wabula naye agamba nti ebikolwa ebino bigenderedwamu kutiisa bantu

Mungeri yemu aagambye nti bwebanaba bafunye ensimbi gyebujja bakwongera okutendeka embwa endala zisindikibwe mu bitundu bwe ggwanga ebyenjawulo ziyambeko mu kulwanyisa obumenti bwamateeka.