Amawulire

Abebyenjigiriza nabebyobulamu bagenda kutuula

Abebyenjigiriza nabebyobulamu bagenda kutuula

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abakugu okuva mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo nabalala abavudde mu minisitule yebyobulamu bagenda kusisinkana olwaleero, okukaanya ku nnaku ezokuggulirako amasomero.

Amawulire agomunda getutegeddeko, galaga nti minisitule yebyenjigiriza eyagala amasomero gagulwewo mu mwezi ogujja ogwa Sebutemba.

Bwatukiriddwa, minisita omubeezi owebyenjigiriza Dr Joyce Moriku Kaducu akakasizza nti bali mu ntekateeka okuggulawo amsomero mu Sebutemba oba Okitobba.

Dr Kaducu agambye nti olukiiko lwaleero lugenda kutema empenda ku bisaanye okukolebwa nokukaanya ku nnaku entuufu.