Amawulire

AbéBugiri baddukiriddwa ku kizibu kyénvunza

AbéBugiri baddukiriddwa ku kizibu kyénvunza

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abatuuze mu district ye Bugiri basanyufu oluvanyuma lw’okufuna ensimbi obukadde 400 nga zino zakubayambako okulwanyisa envunza mu kitundu kyabwe

Ensimbi zino zaasondeddwa banna Rotary club ye Bugiri okuva ku banaabwe abe Germany.

Malijani Azalwa akulira Bugiri Rotary Club agambye nti bwebaalaba envunza zitaamye kwekutemya ku banaabwe okuva e Germany babaduukirire.

Azalwa agamba nti bakizudde nga envunza zino okusinga zikosezza nyo abatuuze mu magombolola nga Budaya, Bulesa, Buwunga and Bulidha.

Ensimbi zino zakweyambisibwa okutambuza abasawo okutuuka ku balwadde, kko nokugula eddagala elyokufuuyira ebitundu omuli envunza zino.