Amawulire

Abébijjambiya e Masaka bakatta abantu 22

Abébijjambiya e Masaka bakatta abantu 22

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Ba Kijambiya abeefunyiridde okutta a abantu mu bitundu ebikola obwagagavu bwé Masaka, mu kiro ekikeesezza leero baliko namukadde Joyce Nantale ne muzzukulu we Barbra nga wa myaka 6 bebasse ku kyalo Bwasa mu muluka gwa Kasaana, Kkingo mugombolola e Lwengo.

Bano baatemeddwatemeddwa kyokka abaduukirize bazze nebabasanga nga bakyassa nebakubira poliisi nejja nebaddusa mu ddwaliro e Masaka era gyebafiiridde.

Bino webijjidde nga mu kiro kye kimu baalumbye namukadde owe myaka 68 naye poliisi yatuuse mu budde nekuba amasasi mu bbanga abatemu nebadduka.

Kati omuwendo gw’abantu guweze 22 abaakattibwa mu bbanga lya mwezi gumu.