Amawulire

Abébijjambiya e Masaka bakatta abantu 19

Abébijjambiya e Masaka bakatta abantu 19

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Abatuuze ku kyalo Bisanje-Kanyogoga mu divizoni ye Kimaanya-Kabonera olwaleero bazudde omulambo ogwokubiri.

Omugenzi ye Peter Mayanja ngabadde amanyiddwa nga Yeye ngbatemu baamusse mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Mu kusooka, baazudde omulambo gwa namukadde owemyaka 70 Annet Nampijja ku kyalo Kasaali mu gombolola yeemu eya Kimaanya-Kabonera.

Kati Mayanja awezezza omuwendo gw’abantu 19 abaakattibwa mu mwezi gumu mu mbeera yeemu.

Poliisi ezze n’etwala omulambo mu gwanika lyeddwaliro ekkulu e Masaka.

Abatuuze mu kitundu kino, emitima gyongedde, okwewanika olwobutemu bwebijambiya obwazeemu.

Sound: Abatuuze Bijambiya

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino Muhamdh Nsubuga olunnaku lweggulo yategezezza nga poliisi bweeriko beyakutte bebajja okubayambako mu kunonyereza.