Amawulire

Abebijambiya balumbye ekkolero lyaba-China e Luweero

Abebijambiya balumbye ekkolero lyaba-China e Luweero

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2021

No comments

Bya Dan Wandera

Ebyokwerinda binywezeddwa mu disitulikiti ye Nakaseke oluvanyuma lwakabinja kabasajja ababadde bakakatanye nebijambiya, okulumba ekkolero lyaba-China nebatema abasirikale ba poliisi ababadde bakuuma.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savana Issa Semwogerere akaksizza obulumbaganyi buno, agambye nti bubadde ku Jui Zhou Stone Quarry Company esangibwa mu Lule zone e Semuto.

Bino bibaddewo mu kiro ekikesezza olwaleero, wabula poliisi etegezezza nga bwebasobodde okukwatako abazigu 2 nebanunula ne mmundu emu, ku bbiri zibadde zibbiddwa.

Bino webijidde ngobutemu bwebijambiya bweyongedde mu bitundu bye Masaka, abantu abali mu 30 bebakattibwa mu kabanga akayise.

Minisita wobutebenkevu nensonga zomunda mu gwanga, Gen David Muhoozi asubirwa, okwogera ku mbeera yebyokwerinda eri palamenti eggulo lino.