Amawulire

Abé Nakifuma bagala bafune disitulikiti

Abé Nakifuma bagala bafune disitulikiti

Ivan Ssenabulya

March 6th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Abakiise ku lukiiko lwa district y’e Mukono bayisizza ekiteeso ekiwagira essaza ly’e Nakifuma okwekutula ku Mukono lifuuke district eyentongodde.

Ekiteeso kino kileteddwa omukiise wegombolola ye Kasawo Samalie Musenero era nekiwagirwa abasigadde.

Musenero mu nsonga zawadde agambye nti kuno kwekusaba kwabantu be Nakifuma oluvanyuma lwobutafuna buwereza nga bwekigwanidde,

Omukubiriza w’olukiiko luno Emmanuel Mbonye asabye minisita owa gavumenti ez’ebitundu Raphael Magyezi okukola ekyetagisa okutwala ekiteeso kino mu palamenti kiyisibwe.