Amawulire

Abe Mukono babasuliiidde ebibaluwa okubatemula

Abe Mukono babasuliiidde ebibaluwa okubatemula

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abakulembeze mu disitulikiti ye Mukono baguddemu akasattiro, oluvanyuma lwebibaluwa ebyasuliidde mu bintundu ebyanjawulo.

Waliwo ebibaluwa ebyasuliiddwa mu gombolola ye Nama ku kyalo Lwanyonyi, Seeta-Namuganga, Bajjo mu Goma nemu central division mu munisipaali ye Mukono.

Ssentebe w’egombolola ye Nama John Bosco Isabrye nowa Mukono Central division Kabanda Robert Peter obuzibu abutadde ku basirikale abakola mu bude bwa kafyu.

Amyuka omubaka wa gavumenti e Mukono Richard Bwabye asabye abantu okubeera bulindaala, bagule firimbi bazikozese mu byempilizganya ssinga babeera balumbiddwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *