Amawulire

Abe Mukono babanja kubaliyirira
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze mu gombolola ye Nakisunga, mu district ye Mukono batanudde okubanja, ekitongole kyamazzi, ekya National Water and Sewerage Cooperation okubaliyirira, olwa polojekiti yamazzi, eya Mukono Katosi.
Abakosedwa bali ku byalo Nakisunga, Lubugumu ne Namayiba, pipe gyezigenda, okuyita, nga bagamba nti ettaka lyabwe bakonjobioddeko, awatabadde kubaliyirirra.
Bategezezea, nga bwebabalirira, naye okutuusa kati tebaweebwa ssente.
Wabula bwabadde ayogerako naffe, ssentebbe we gombolola Ssekikubo Mubaraka, agambye nti tewalai muntu yenna, gwebagenda kuliyirira mu ntekateeka eno.
Ono agamba nti amazzi gagenda kuyita, ku mabbali ga kkubo, oba road gavumenti gyeyagula, okuyita mu kitongole kyenguudo, ekya UNRA, mu kukola oluguudo lwa Mukono-Katosi.