Amawulire

Abe Makerere balonda

Ali Mivule

March 4th, 2013

No comments

 

Muk students vote

Abayizi mu ttendekero ekkulu e makerere batandise okulonda omukulembeze waabwe omuggya

 

Akulira akakiiko akalondesa, Allan Akankwasa agamba nti okulonda kutandise ku ssaawa bbiri ez’okumakya era nga kukyatambula bulungi

 

abayizi emitwaalo 40,000 beebasuubirwa okulonda ate ng’abayizi 8 beebali mu lwokaano.

 

Kuno kuliko Munna FDC Anne Odeke, Owa UPC Caucus Okello, Boniface Oketta owa NRM ne Martin Ssegawa owa DP.

Okulonda kufundikirwa ku ssaawa kkumi neemu eza kawungeezi era ng’ebivudde mu kulonda nabyo bisuubirwa akawungeezi ka leero