Amawulire

Abe Luweero bayambiddwa

Ali Mivule

February 27th, 2014

No comments

rains

Gavumenti esindise obuyambi eri abantu abagoyebwa enkuba e Luweero ssabbiiti eno ng’etandika

Abakulembeze ba disitulikiti baali basabye obukadde 300 okuyamba abaakosebwa

Abantu abasoba mu 100 beebakosebwa enkuba mu bitundu bye Luweero nga baludde nga basaba obuyambi

Minista omubeezi akola ku bigwabitalaze Musa Ecweru agamba nti ebiwereddwa abantu byakuyamba okujja mu nyanga gyebasigalamu

Bano bawereddwa amabaafu, Bulangiti,obuwunga bwa kasooli n’ebijanjajaalo