Amawulire

Abe Kyesiga basabye Museveni ayingire mu nkayana ze ttaka

Abe Kyesiga basabye Museveni ayingire mu nkayana ze ttaka

Ivan Ssenabulya

August 28th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Abatuuze ku kyalo Kasanje mu gombolola ye Kyesiga mu district ye Masaka, kooti beyalagidde okwamuka ettaka eririko enkayana, bekubidde enduulu ewomukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni nga bagala ayingire mu nsonga.

Mu July womwaka guno kooti yalagira amaka agali mu 500 okuva ku ttaka erya yiika 350 ku kyalo kino.

Omulamuzi wa kooti ye Masaka Deogratius Ssejemba yalamula nti abantu bano besenza ku ttaka lino mu bukyamu, nti lya Joseph Bukenya.

Kati nga bakulembeddwamu kansala waabwe ku lukiiko lwe gombolola Mudashiru Bbaale basabye omukulembeze we gwanga ajje okubayamba.

Bano bagamba nti mu kulambula omukulembeze we gwanga, kwabaddeko yalagira banamateeka ensonga eno bajitunulemu, wabulanga nokutuusa olwaleero tewali kyali kikoleddwa.