Amawulire

Abe Kayunga bagaanye okubabala

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

enumerators

Abantu okuva ku byaalo bisatu okuli ekye Kawoomya, Wakisi ne Nakirubi ebisangibwa mu gombolola ye Kangulumira mu disitulikiti ye Kabagaanye okubalibwa.

Bano bagoberezi b’ekidiini ekya 666 nga bagamba nti abalibwa, tebajja kugenda mu ggulu

bbo abakulira eby’okubala abantu mu disitulikiti ye Lyantonde basabye poliisi okutandika okunonyereza ku kidiinidiini ekigaana abagoberezo baakyo okubalibwa.

Omu ku bakulira enteekateeka eno Muhamad Mwesigwa agamba bwebaabadde  babala abantu ku kyalo Lusozi Kibisi , waliwo omukyaala eyabatabukidde nga ediini ye bwetamukiriza kubalibwa kale bamuve mu maaso.

Ono y’abategezezza nga bwajja okufuna ekinamba kya 666 singa abalibwa nga kale kino kitegeeza kugenda mu geyeena.

Mungeri yeemu abatuuze ku byaalo ebyenjawulo beralikirivu ku babala abantu bebaganba nti bakyaali bato nnyo kale nga kizibu okukuuma ebyaama kwebyo byebabaddamu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino  Noah Sserunjoji ategezezza nga bwebagenda okunonyereza ku nsonga eno nga era ebitongole ebikuuma ddembe sibyakukkiriza Muntu yenna kutaataganya nteekateeka za gavumenti.