Amawulire

Ab’eIganga bazudde omulambo

Ab’eIganga bazudde omulambo

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abatuuze mu Mutukula zone ekisaangibwa mu district ye Iganga bakereedde mu ntiisa bwebagudde ku mulambo gwomusajja owemyaka 47, nga gwasuliddwa ku mabbali ge kkubo.

Omugenzi ye Hakim Waiswa, omulambo gwe gusangiddwa ku Bwongo road mu munisipaali ye Iganga.

Ssentebbe we kyalo kino Hussein Abdallah agambye nti omugenzi abadde mutuuze mu gombolola ye Busedde mu district ye Jinja.

Omusajja abadde tamanyikiddwa mu kitundu, waddenga basobodde okutereega ebimukwatako.

Kati omulambo gutwaliddwa mu gwnaika lye ddwaliro ekkulu e Iganga okwongera okwekebejebwa, ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.