Amawulire
Ab’e Bududa bagemebwa Kolera
Bya Benjamin Jumbe, Minisitule ye by’obulamu etandise kawefube ow’okugema abatuuze be bududa ekirwadde kya kolera.
Kawefube ono alubiridde kugema bantu abasoba mu mitwalo 5 mu miluka 22
Kino kikoledwa okusobola okuziyiza ekirwadde kya kolera okusasaana oluvanyuma lw’ekirwadde kino okubazinda.
Okusinzira ku minisitule abantu 51 bebakawandiisa nga bateberezebwa okuba ne kirwadde kino naye nga kubano 48 baasibuddwa.
Mu kiwandiiko ky’omukungu mu minisitule eno Dr Henry Mwebesa kiraga nti okugema kwa kwetololera mu bitundu okuli Busiliwa, Bushiyi, Bumwalukani, Bumasata, Bunambatsu, Bushunya, Bumusenyi, Bunandutu nendala
Eddagala kya kolera liweebwa abaana wakati w’omwaka ogumu okutuuka kw’etaano