Amawulire

Abazimba oluguudo balabuddwa ku by’okusobya ku bakyala

Abazimba oluguudo balabuddwa ku by’okusobya ku bakyala

Ali Mivule

August 25th, 2016

No comments

fortAb’obuyinza mu disitulikiti ye Kabarole balabudde abakola oluguudo lwe Fortpaortal okudda e Kyenjojo okwewala omuze gw’okusobya ku baana wamu n’okukaka abakazi omukwano nga bakola emirimu gyabwe.

 

Omulimu gw’okuzimba oluguudo luno olw’obuwumbi 71 gwatandika mu June w’omwaka guno nga era kampuni y’aba China eya Wu Yi Co Ltd yeli ku kulukola.

 

Kati mu lukiiko lwebatuuziza ku kitebe kye Kigumba, omuwandiisi wa disitulikiti Florence Kadoma ya;abudde bonna abakola ku luguudo luno obutageza kukwata ku muwala yenna kubanga singa bakitegeera kontulakiti yakusazibwamu.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *