Amawulire
Abazigu babbye aba Monitor abatambuza amawulire
Bya Philip Wafula
Poliisi mu district ye Mayuge ebakanye n’omuyiggo ku bazigu abaatadde emisanvu ku luguudo ne babba, omugoba wa Daily Monitor n’abantu abalala 2 babadde nabo mu kiro ekikesezza olwalaeero.
Joshua Etaju omugoba wa Nation Courier Uganda wansi wa Daily Monitor, agambye nti baguddemu babbi wakati wa Musita ne Baitambogwe ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga, bwebabadde batwala amwulire mu Buvanjuba bwe gwanga.
Agambye nti roadblock eno abaddeko abasajja nga bebagalidde emmundu mu byambalo byamagye, nga babalagidde baewwyo byonna byebalin kubadde namasimu gaabwe gonna.
Etaju agambye nti bamubbyeko emitwalo 24 ne banne buli omu emitwalo 3, wabulanga baddukidde ku poliisi ye Baitambogwe gyebaloppye omusango guno.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga James Mubi, akakasizza kino nagamba nti bagenda kwongera okunonyereza.