Amawulire

Abazadde e Kyotera bapangisa abaana mu Bufumbo

Abazadde e Kyotera bapangisa abaana mu Bufumbo

Ivan Ssenabulya

July 26th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Minisitule evunanyizibwa kunsonga ezomunda mu ggwanga etandise okunonyereza ku bigambibwa nti abazadde mu disitulikiti ye Kyotera bapangisa abaana babwe abobuwala mu bufumbo wiiki wiiki

Bino byogeddwa Agnes Igoye, amyuka akwasaganya emirimu gyokulwanyisa ebikolwa ebyokukukusa abantu mu minisitule eno.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, Igoye agambye nti abaana abakosebwa ne nkola eyokukukusibwa bali 223 ku baana 344 abaanunulibwa wakati wa January ne June 2021.

Ono anyonyodde nti mu kiseera kye kimu emisango 149 egyokukukusa abantu gyegyayingizibwa mu fayilo ya DPP