Amawulire

Abazadde basabiddwa okwegendereza abagala okuyamba ku baana fiizi

Abazadde basabiddwa okwegendereza abagala okuyamba ku baana fiizi

Ivan Ssenabulya

January 2nd, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omubaka wa gavt mu disitulikiti y’e Namutumba, Tomasi Matende asabye abazadde okwegendereza abantu abajja gyebali nga beefudde abagenda okuwa abaana babwe zi-sikaala nga bwe beetegekera okudda ku ssomero omwezi ogujja.

Agambye nti abantu abamu beefula abagala okuwa abaana sikalaa kumbe bagala kubayingiza bikolwa ebyobuyekera.

Matende agamba nti abazadde abalina obuzibu mu bisale balina okukozesa ebyenjigiriza eby’obwereere mu masomero ga gavumenti agatandikiddwawo mu bitundu byabwe.

Agamba nti ekitundu kya Busoga kizuuliddwa ng’a waliwo abakolagana nabayeekera aba Allied Democratic force era nga bebatera okwagala okuyingiza abaana mu buyekera.