Amawulire

Abayizi bangi banywa omwenge

Abayizi bangi banywa omwenge

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Okunonyereza kulaze nti abayizi bangi kuzi University, betaba mu bikolwa ebybulagajavu okunywa omwenge.

Akulira ettabi lya Psychology ku ttendekero e Makerere, Dr. Leon Matagi agambye nti ouze guno baazudde nga guva waggulu negukirirra nemu bayizi abamu mu bibiina ebya wansi.

Agambye 15% abayizi mu kibiina P6 ne P7 banywa omwenge nemu bitundu gyebawnagaliira.

Ku mutendera gwa Secondary abalenzi 32% banywa omwenge atenga abawala bakola 18%.

Kati akulira kampuni ya Nile Breweries David Daniel Valencia agambye nti okulwanyisa omwenge mu bayizi nabaana abatanetuuka kisoboka okulwanyisibwa okuyita mu kubaga amateeka amalungi.

Kati amyuka kamisona, ku nsonga zabaana mu minisitule yekikula kyabantu Mondo Kyateeka ye agambye nti amateeka getagisa naye nabantu betaaga okunywa omwenge nobuvunanyizibwa.