Amawulire

Abayizi bagudde ku kabenje

Ali Mivule

July 19th, 2013

No comments

 

Bus in accident

Abayizi abasukka mu 20 bagudde ku kabenje ku luguudo lw’e Kampala – Gulu.

Akabenje kagudde Kiwoko e Nakasongola , baasi ebaddemu abayizi abasukka mu 70 ab’essomero lya St Teresa SS Masindi nga bagenda okulambula, bweremeredde omugoba waayo ne yeefula.

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’omu masekati g’eggwanga, Lameck Kigozi agambye nti baasi evudde ku luguudo neyevulungula emirundi egiwera, abayizi 28 balumiziddwa nga ku bano 15 bali mu mbeera mbi mu ddwaliro e Kiwioko gye badusiddwa.

Kigozi agamba nti entabwe evudde ku kuvugisa kimama.

 

Dereeva atamanyiddwa manya, akuumirwa ku polisi e Nakasongola.