Amawulire
Abayizi 7 abaali bakwatibwa e Gulu bayimbuddwa
Bya Juliet Nalwooga
Uganda National Examination Board bategezezza ngabayizi 7 aba S 4 abakwatibwa oluvanyum lwa banaabwe 2 okutibwa e Gulu, bwebayimbuddwa kukakalu ka poliisi era bagenda kweyongerayo n’ebigezo byabwe.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire, omwogezi wa UNEB Jennifer Kalule ayongedde okulabula ku busiwuufu bwempisa mu bayizi wakati mu kukola ebigezo nga kugenda mu maaso.
Kinajjukirwa nti mu njega eno, abayizi aba S. 4 babiri ku ssomero lya St Joseph’s College bakubwa amasasi agabatta, bwebaali balumbye essomero eddagala, Bright Valley School okusoberera abawala.
Abalenzi bano baali mu kibinj kyabayizi 10, wabula aomukuumi ku ssomero lyabawala yabekengeera ngabayita babbi nabakubmu maasai, era babair nebafa.
Kati Kalule avumiridde ebikolwa nga bino.