Amawulire

Abayizi 6 bebakazaliira mu bigezo

Abayizi 6 bebakazaliira mu bigezo

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board kirabudde abayizi ku kumala gawakula embuto, nga tebanetuuka.

UNEB balabudde nti guno gwemulundi ogwasembyeyo, okwongeramu edakiika 45 eri abayizi abembuto, nokubawa enkizo okwengeri ngeeno.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire mu Kampala, akulira ebyamwulire ku kitongole kyebigezo Jennifer Kalule agambye nti bakafuna abayizi 6, abazaira wakati mu kukola ebigezo okuva lwebyatandika.

Ono agambye nti ku bano 5 basobodde okweyongerayo nebigezo byabwe, oluvanyuma lwokusumulukuka obulungi, atenga omu yazadde omwana nga mufu era mu mbeera gyeyabaddemu nga tasobola kweyongerayo okukola eboigezo.

Ebigezo bya S 4 oba Uganda Certificate Education, wetwogerera nga biri mu wiiki yakusattu.