Amawulire

Abayekeera 19 beewaddeyo

Ali Mivule

December 11th, 2013

No comments

Ankunda

Abayeekea ba LRA  19 basazeewo okwewaayo mu mikono gya magye ga UPDF.

Bano babadde wansi w’omu ku baduumuzi b’abayekeera ba LRA amanyiddwa nga  Lt Col Obur Nyeko. 

Agavaayo gooleka nga bano bwebeewereddeyo mu kitundu ekye Obbo ekisangibwa mu gwanga lya Central African Republic.

Ebewaddeyo bonna bannansi ba Uganda nga kuno kuliko abacholi n’abateeso, nga ku bano kubaddeko n’abaana 6.

Ayogerera amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda atugambye nti mu kaseera kano bali mu nteekateeka ezisembayo okulaba nga bano bakomezebwaawo  ku butaka.

Eky’abayekeera owkewaayo kisanyukiddwa nnyo ab’ekibiina kya Invisible children agamba nti nti kino kiraga nti abayekeera bangi abagaala okulwana era nga nabo bawagira okuteesa okulaba nti olutalo luno luggwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *