Amawulire

Abawuliriza ba Dembe FM bakiise embuga

Ali Mivule

August 5th, 2013

No comments

dembe logo

Abawuliriza ba Dembe FM obawaddeyo emitwaalo 20 eri omulimu gw’okuzzaawo amasiro ga ba ssekabaka .

Mu ngeri yeemu era baguze ne certificate eziweza emitwalo kkumi.

Bano basisinkanye minister w’ebyemizannyo Henry Ssekabembe abaddewo ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Ng’ayogerako gyebali, Owek Sekabembe abasabye okwettanira emilimu gy’emikono neyebaaza ne Radio ya Dembe musaanikira mikutu olw’okusomesa abantu ba Kabaka.

Mu ngeri yeemu asiimye n’omubala gwa Radio Ya Dembe ogw’omuziki n’ebikuzimba n’asaba ne leediyo endala okulabira ku yye.

Yye ekulira abawuliriza ba Dembe, Twaha Mpagi asuubizza nga bwebagenda okusigala nga babunya Dembe buli wamu n’abalala okunyumirwa ku birungi enkumu ebiri mu kuwuliriza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *