Amawulire

Abawala batono abaganyulwa muntekateeka ya student loan scheme

Abawala batono abaganyulwa muntekateeka ya student loan scheme

Ivan Ssenabulya

November 12th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku bwenkanya aka kenyamivu olwómuwendo gwábayizi abawala abaganyulwa munteekateeka yókuwola abayizi ensimbi eya student’s loan scheme okuba omutono.

Okusinzira ku ssentebe wa kakiiko kano, era nga ye mubaka omukyala owa Alebtong disitulikiti  Dorcus Acen, ku bayizi omutwalo gumu mu 1,187 gavt belubirira okuyamba okufuna ensimbi basome noluvanyuma basasule nga bamaliriza emisomo gyabwe 3,325 bawala ate 7,862 balenzi.

Acen wano wasabidde okufuna okutangazibwa okuva eri akulira akakiiko aka higher students’ financing Board, Michael Wanyama lwaki abawala batono abaganyulwa mu ntekateeka eno.

Mu kumwanukula Wanyama agambye nti abawala batono abeewandiisa okuganyulwa muntekateeka eno songa nabakola amasomo ge byasayansi nabo balubatu.

Mu kiseera kino abayizi abayizi abatwala amasomo aga sayansi, technologia ne byayingiyiya nókubala mu Diploma ne Degree bebaganyulwa muntekateeka ya student loan scheme.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *