Amawulire

Abavunanibwa okutta abakazi babejerezza
Bya Ruth Anderah
Abadde omuvunanwa omukulu ku misango gyekitta bakazi Entebbe Ivan Katongole nabalala 2 bwebbadde bavunanibwa kooti enkulu ebejerezza.
Omulamuzi Wilson Kwesiga yayimbudde abantu bano kati balya butaala.
Omulamuzi alamudde nti bano tebalina musango, gwa kwewozaako, ngatezezza, nti kimalamu namanayi, okugalira abantu mu budukulu, abatalina musango.
Katongole nga musubuzi wa byenyanja,ku mwalo e Kaseny, Andrew Kizito ne Hellen Nabaggala oludda oluwaabi lubadde lugamba nti bebatemula omugenzi Rose Nakimuli ku kyalo Kitala mu Town council ye Katabi, obutemu obwaliwo nga July 24th 2017.
Kati omulamuzi ayambalidde oludda oluwaabi nti emirimu bakola gadibe, ngalye kubanga tewaliiwo bujulizi, bukaksa nti abavunanwa baali mu kifo, webattira Rose Nakimuli.
Omulamuzi Kwesiga atadde gavumenti ku nninga nti etekeddwa okunonyereza, kubanga ekitta bakazi kyateeka egwanga lyonna ku bunekenke.
Kinajjukirwa nti omulambo gwa Nakimuli gwasangibw mu lusuku, nga gusonsekeddwamu ebiti mu bitundu bye kyama nga tali namu ngoye.