Amawulire

Abavunanibwa okukekejjula abawala babasindise ku alimanda
Bya Ivan Ssenabulya
Abantu 19 bvunaniddwa emisango gyokukukejjula abakyala mu mbugo noluvanyuma nebasindikibwa ku alimanda.
Bano bakwatibwa ku BbAlaza mu kikwkekweto ekyakolebwa poliisi namagye mu district ye Kwen.
Kati basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ento mu district ye Kapchorwa Teko Lekoris, wabula emisango, nebagyegaana.
Oludda oluwaabi nga lukulmbeddwamu Timothy Adutu lugamba nti bano emisango baajizza ng 21st January 2019 mu bitundu bya district ye Kwen ebyenajwulo.
Abamu ku bano bavunanibwa okwenyigira mu kuyambako ebikolwa byokukekejjula abawala.
Kati omusango gwongezeddwayo okutukira ddala nga 6th February 2019, lwebanakomezebwawo mu kooti.