Amawulire
Abavuganya gavumenti bakubye ebituli mu mbalirira
Bya Benjamin Jumbe ne Damalie Mukhaye
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye abakulembeze, abalonde, banadiini nabakulembez abe noookuwagira gavumenti, mu lutalo lweliko okukyusa ebyenfuna bye gwanga.
Bino abyogeredde ku mukolo ogwokusoma embalirira ye gwanga, akawungeezi akayise, president Museveni agambye nti buli mukulembeze, asaanye okubunyisa engiri eri abantu, kungeri
Wano era agambye nti ensawo endala 3 zitondedwawo, okulwanyisa obwavu, nokuondawo obugagga.
Kuno kuliko esawo ey’okuwagira abakulembeze abalonde, okuli ba ssentebbe be byalo nablala.
Ensawo endala kuliko Zonal Fund ne Enyoga Fund okuyamba abantu aba business entonotono.
Mungeri yeemu akulira oludda oluvuganya gavumnti mu palamenti, Betty Aol Ocan akubye ebituli mu mbalirira ye gwanga eyasomeddwa, nagamba nti tekwata ku muntu wabulijjo.
Mu mbalirira ye gwanga esomeddwa minister webyensimbi Matia Kasaija, eyobwesedde amakumi 40 n’ekitundu ssente okusinga zigenda kutekebwa mu nguudo, ebyamakolero nebiralale bayebagamba, byakuseesa mu nkulakulana eyawamu.
Ocan agambye nti ensimbi zigwana kuteebwa mu bintu ebikwata butereevu ku bantu.
Kati ababaka Kaps Fungaroo, Stephen Mukitale ne Lutamaguzi Ssemakula, buli omu embalirira jiraba bubwe.
Ate ministry yebyenjigiriza nemizannyo yaakowngera amaanyi mu technologiya owekinkumu okulwanyisa omuze gwabasomesa, okwebulankanya ku masomero.
Kino kyogeddwako nti kyekimu ku bisudde omutindo gwebyenjigiriza, nabaana okukola obubi.
Mu mbalirira eyomwaka gwebyensimbi 2019/20 minister webyensimbi Matia Kasaija gambye nti bagenda kuteeka ensimbi eziwerako, ku bbali okwongera amaanyi mu kawefube ono.
Agambye nti ku masomero 20 aga gavumenti, mwebakolera okugezesa baazudde, ngomuze gwabsomesa okwebulankanya gwakendeera okuva ku 15% mu 2015 okudda ku 4% kankano mu 2019.