Amawulire

Abavubuka Bavuddemu Omwasi ku Lutalo lwa Nantaba/Namuganza

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2017

No comments

Bya Moses Ndaye

Waliwo ekibinja kyabavubuka okuva mu Buvanjuba bwe gwanga abavuddeyo ku ntalo nokwerumaruma ebigenda mu maaso wakati wa Minister omubeezi owebye ttaka Persis Namugaza ne munne owebyamawulire nebyekikugu Aida Nantaba.

Bano abakulembeddwamu Denis Obita ne Ritah Namwenge bagamba Nantaba yaneneyzebwa kuba yaseesa mu ntalo zino.

Wano bawadde ba minister bano amagezi, bakulembeze kya kuwereza bantu ssi ntalo zaabwe ngabantu.

Ababubuka bano balayidde okuddukira ewomukubiriza wa palamenti Rebbecca Kadaga, ayingire mu nsonga zino ba minister ababiri bbakwatibweko obutamala geswaza nokuswaza egwanga.

Bino webijidde nga ba minisita ababiri, Nantaba ne Namuganza bazze balabwako mu lujudde nga beyogerera ebiwanvu.