Amawulire

Abavubuka bakubiriziddwa

Abavubuka bakubiriziddwa

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Nga uganda yegase kunsi yonna okujaguza olunaku lwa democracia, ekibiina ky’obwannakyewa ekitakabanira okulonda okw’amazima n’obwenkanya ki citizens coalition for electoral democracy (CCEDU) kisabye abavubuka okwenyigira mu kulonda kwa 2021.

Omukwanaganya w’ekibiina kino Crispy Kaheru, agamba nti wetunatukira mu kulonda kwa bonna okwa 2021 uganda ejjakuba na balonzi abali wakati w’emyaka 18-40 abakola ebintu 72% n’olwekyo abavubuka basanye okwenyigira mu kulonda kuno.

Kaheru akattiriza nti democracia okubukala munsi buli muntu alina okuwulira nti akikiribwa bulungi

ku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde Uganda lwe yatandika okukuza emikolo gya democracia ne mikolo wali e Kololo wansi w’omulamwa ogugamba nti twenyigiremu.