Amawulire

Abavubuka ba NRM bagala Lumumba agobwe
Bya Prosy Kisakye
Abavubuka mu kibiina kya NRM, mu masekati ge gwanga batanudde oikubanja nti ssabawandiisi w’ekibiina kino Justine Kasule Lumumba, agobwe.
Bano babadde mu lukungaana lwabanamawulire mu Kampala, nga bakulembeddwamu Frank Sserubiri, nga bategezezza nga Lumumba bwalemereddwa emirmu gye.
Ezimu ku nsonga zebawa nti yalemererwa aokukunga obuwagizi eri ssentebbe wekibiina Yoweri K. Museveni mu kuvuganya ku bukulembeze bwe gwanga.
Bagamba nti kimalamu amaanyi okuba nti Museveni teyaweza wadde ekitundu ku balonzi obukadde 12, abali mu alijesita yekibiina.
Ebiralala bagamba nti Lumumba yagaana, okuzimba wofiisi zekibiina mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo, nga byebimu ku binafuyizza ekibiina.