Amawulire

Abavubi be Katosi-Mukono babayimirizza

Abavubi be Katosi-Mukono babayimirizza

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abavubi okuva ku mwalo gwe Katosi baakedde kugumba ku kitebbe kya disitulikiti ye Mukono okulaga obutali bumativu bwabwe ku balwanyisa envuba embi ku nyanja ababayimirizza okukola.

Abavubi bagamba nti akulira abalwanyisa envuba embi ategerekeseeko erya Isreal yabayimirizza awatabadde kubanyonyola kimala, lwkai kino kyakoleddwa.

Bagamba nti tebalina kyebanaaba basigazza kubanga guno gwemulimu, webajja ensimbi okwebezaawo.

Akulira abakozi ba gavumenti nemirimu e Mukono James Nkata bano abagumizza, nti ensonga agenda kuziyingiramu okuzigonjoola.