Amawulire

Abatwala ebyenjigiriza e Mubende batandise okulambula amasomero

Abatwala ebyenjigiriza e Mubende batandise okulambula amasomero

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti,

Abatwala ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Mubende batandiise okulambula amasomero ga government okulaba embeera gyegalimu mu kiseera kino nga amasomero magale olw’ekirwadde kya Covid-19.

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Mubende Kabunga Arshaf agamba nti ku muggalo ogwasooka amasomero mangi gayononeka olwa basomesa obutafaayo kugadabulula nga ku mulundi guno bagala amasomero gano okubeera mu mbeera ennungi.

Entekateeka eno etandiikidde magombolola okuli Kigando, Kasambya ne Kibyamirizi era ng’eno amasomero gasangiddwa nga gali mu mbeera nnungi nga wano abazadde basabiddwa obutalagajalira baana babwe mu kiseera kino eky’omuggalo nebatuuka n’okubafumbiza eri abasajja nga nabalala bali mbuto ekigenda okukosa ebiseera byabwe eby’omumaaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *