Amawulire

Abatuuze e Bukwo bagala CAO agobwe

Abatuuze e Bukwo bagala CAO agobwe

Ivan Ssenabulya

October 17th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Waliwo abatuuze mu disitulikiti ye Bukwo mu kitundu kye Sebei abasabye minisitule ya gavumenti ezebitundu okukyusa kulira emirimu gya gavumenti oba Chief Administrative Officer owe Bukwo, Balabas Swaib.

Abatuuze okuva ku kyalo Amanang nga bakulembeddwamu Joshua Chelimo balumiriza CAO enguzi, bagamba nti ebbanga eddene lyamaze ku disitulikti abaletedde bulabe bwerere.

Bagamba nti abantu babulijjo, tebaganyuddwa mu ntekateeka za gavumenti olwengeri ono gyeyekobanamu nabakozi ba gavumenti abalala okubulankanya ssente, nga tewabaddeewo na bwenkanya.

Bukwo ebadde mu kattu, mu wiiki 2 eziyise oluvanyuma lwokuzuula abakozi empewo mu vulugu gavumenti mwebadde efiirwa ensimbi obukadde obuli mu 700.

Wabula CAO Balabas Swaib yye agamba nti talina nsobi yonna gyakoze mu mirimu gye era engalo z ennyonjo nnyo.