Amawulire

Abatuuze bemulugunya ku mwala

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze be Ngandu mu ye Mukono balaliise, nga bwebagenda okuva mu mbeera bekalakaase olw’omwala oguli mu kitundu kyabwe, okutandise nokubononera amayumba.

Bano bagamba batambudde mu wofiis zonna mwebasubira obuyambi nayenga, babasubizza leero nenkya.

Omwala guno gusanagibwa ku kyalo Ngandu okumpi nomugga Nakawolole.

Wabula Engineer we’kibuga Josiah Sserunjogi, agumizza abatuuze nga bwebagenda okubalambula biffo byonna, ebizze bikoseba olwamazzi basoboola okusaala amagezi, agenkomeredde.