Amawulire

Abatuuze bé Nakifuma balajana lwa Mugagga ayagala okubagoba ku Ttaka

Abatuuze bé Nakifuma balajana lwa Mugagga ayagala okubagoba ku Ttaka

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abatuuze ku kyalo Kakinzi mu Nakifuma-Naggalama Town Council mu district y’e Mukono basobeddwa oluvanyuma lwagambibwa okubeera omugagga okugula ettaka kwebabadde emyaka ejiwerako.

Famire y’omugezi Swalih Mukiibi bali mu kutya, oluvanyuma lwomugagga Baker Ssebufu okugula ettaka yiika 18 okuva ku bananyini lyo okuli  Solome Lydia Nanyonjo ne Elesie Kawumi.

Abaana b’omugezi Mukiibi, nga bakulembeddwamu Sulaiman Ssemakula bagamba nti Ssebufu bweyali agenda okugula ettaka lino teyasooka kubategezaako wabula bagenze okuwulira nti babagulidde mu ttaka.

Kati bawanjagidde ab’obuyinza okuyingira mu nsonga zino.

Wabula omugagga eyogerwako Ssebufu atubuliidde nti nti bakanya bulungi n’abantu bano mu buwandiike, naye balabika bagala kwekyusa.