Amawulire

Abatuuze b’e Kassanda bakanyizza n’omubikira kubyettaka

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abatuuze abasoba mu 600 ku kyalo Yala-Kasambya mu gombolola ye Kiganda mu disitulikiti ye Kassanda, bafunye ku buwerero oluvanyuma lwokutuuka ku nzikiriziganya ne nanyini ttaka gwebalude nga bagugulana naye mu kooti.

Abatuuze babadde bawakanya ekyokubagobaganya ku ttaka lino kwebagamba nti baludeko ebbanga.

Ettalika eryogerwako, liwezaako obunene bwa yiika 627 lilude, nga likayanirwa omusisita Marry Richard Nayiga owa St. Joseph Society nanyini ttakka n’abatuuze abali ku bibanja.

Mu lukiiko olwatudde ku ssomero lya Yala Primary school Kasambya, nga lwetabidwamu abatuuze wamu nga bali wamu ne looya wabwe Ainebyona Tebalina Musango, abakulembeze ku disituliki, balooya b’omusisita okubade Ssesanga Gonzaga Kironde ne Evelyn Zawede n’omubaka wekitundu kino Frank Kabuye batadde emikono ku ndagano ekiriza omusisita okugenda maaso n’okwerula empenda z’ettaka.

Wabula enzikiriziganya eno okuberawo, abamu ku batuuze basoose kunyolagana n’e banamateeka nga bawakanya ekyokwerula empenda.

Abamu ku bantuuze betwogedeko nabo bagamba nti kino kyebatuseeko buwanguzi bwamanyi ng’emitima gyibade gyabewanika naye osanga banafuna ku mirembe.

Omubaka wa Kassanda South mu palamenti Frank Kabuye asabye banayini ttaka mu Kassanda okugobereranga amateeka gettaka, mu byonna byebakola.