Amawulire

Abatuuze bé Kasangombe bavudde mumbeera lwa kwagala kubagoba ku ttaka

Abatuuze bé Kasangombe bavudde mumbeera lwa kwagala kubagoba ku ttaka

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abatuuze kukyaalo Kasangombe ekisangibwa mu town council ye Wakiso bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya kuky’omuggaga agambibwa okwagala okubagoba kuttaka lya kabaka lyebasasulirako busuulu.

Abatuuze balumiriza Steven Wabwiine ne Kironde Ashiraf okwagala okubagoba kuttaka nga berimbika mukwagala okwelula empeeda zettaka.

Abatuuze abasoba mu 1000 bebawangalira ku ttaka lino

Omubaka wa president atuula mu district ye Wakiso Justine Mbabazi agambye nti ensonga zinno azimanyi bulungi nga lweyazitulamu yayimiriza omugaga Wabwiine okwerura empenda zettakalye okutuusa ngafunye okulungamizibwa okuva mu Buganda land board.

Omwogezi wekitongole kyobwakabaka ekya Buganda Land board Denis Bugaya agambye nti tebawangako Wabwiine liizi kuttaka lye Kasangombe wabula nga tebagaana muntu yenna ayagala kwelura mpenda nga alina okukikola nga nabo webali okusobola okukakasa obutuufu bwettaka lyayogerako.