Amawulire
Abatuuze bawakanyizza okujjawo oluzzi
Bya Shamim Nateebwa
Abatuuze n’abakozi b’emirimu mu Kiwuunya Shadow Zone beekengedde, bagamba nti bagenda kutataganyizbwa nemtekateka za KCCA n’abakulembeze zebalina okusetula oluzzi lwabwe olumu lwokka lwebalina mu kitundu.
Oluzzi luno luli mu kibanja kyomu ku batuuze, wabula olw’enkyukakyuka y’obutonde nemirimu egikolebwako amazzi mu luzzi lno gaganze gakendeera.
Kati abatuuze okuli neba kanaabe, batunyonyodde obuzibu bwebasanga olwamazzi.
Ate ssentebe wekitundu kino Baylon Mutabazi ategezezza nga bwebamaze okuwandiikira omumyuka w’omubaka wa gavumenti, mu Kampala ku nsonga zino waddenga tanabaddamu.