Amawulire

Abatuuze balumiriza ab’amagye okubagoba ku ttaka

Ali Mivule

June 7th, 2017

No comments

 

Bya Gertrude Mutyaba

Abatuuze ku mwalo gw’eMumpu bawanjagidde gavumenti ebayambe ku b’amagye ababagoba ku ttaka.

Bano babadde basisinkanyemu omubaka wa Parliament owa Bukoto East Florence Namayanja ne Sentebe wa district y’eMasaka Jude Mbabaali.

Abatuuze balumirizza Pastor Kakande okuba mu lukwe luno olw’okubagoba ku kyalo nga akozesa ab’amagye era nebasaba abakulembeze babwe babayambe olw’okuba nti ekyalo kino kyebagyamu Omubaka Namayanja ategeezezza nga bw’atagenda kukkiriza kino kubaawo nga waakulwanirira abantu be baakiikirira.

SSentebe Jude Mbabaali agambye nti waakukozesa etteeka ku kino ekigenda mu maaso olw’ensonga nto omwalo guno gwegumu kugyigyibwamu ensimbi eziyimirizaawo district ye Masaka.

Ono alagidde abatuuze bonna abaasenguse okudda mu maka gabwe nga n’abakulembeze bwebagonjoola ensonga eno.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *