Amawulire

Abatulugunya Mayor Baleteddwa mu Kooti

Ivan Ssenabulya

May 26th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Abasirikale ba poliisi 4 abavunanibwa okutulugunya mayor we Kamwenge Goeffrey Byamukama, basimbiddwa mu kooti nebasomerwa emisango era nebazibwa ku alimanda e Luzira.

ASP Patrick Muramira, ASP Fred Tumuhairwe, Habib Roma ne Ben Odeke balabiseeko mu maaso gomulamuzi Jamson Karemani owa kooti ya Buganda Road nebabasomera emisango 2 okuli okutulugunya nokutuusa obuvune obwamanyi ku muntu.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Nelly Asiku lutegezezza nti abavunanwa ngennakuz zomwezi 5th mu mwezi gwokuna awo ku Ministry yebyettaka mu Kampala bawakata mayor era munegriememenya amateeka nebamutulugunya, ngabakozesa obutayimbwa nebiralala nebamukuba nafuna ebiwundu ebinenene okkira ebinnya mu maviivi nobuongovule.

Kooti etegezeddwa nti bano emisango bajizza wakati mu kukola emirimu gyabwe bwebaali batwala mayor ono ku poliisi era mu mmotoka ya poliisi.

Kati emisango ejibasomeddwa bajeganye era omulamuzi kwekubasindika ku alimanda e Luzira okuttusa ngennakuz zomqwezi 30th May 2017 lwebanadizibwa mu kooti.