Amawulire

Abatujju bazzeemu okwewerera Uganda

Ali Mivule

December 9th, 2013

No comments

Nabakooba again

Abatujju bazzeemu buto okwewerera Uganda.

Bano ku luno batunuulidde basundiro ga mafuta n’ebifo ebirimu abantu abangi nga bulijjo

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bafunye amawulire agakakasa nti abatujju bano tebatudde.

Nabakooba agamba nti basazeewo okwongera okunyweeza eby’okwerinda mu bifo eby’enjawulo  naddala mu biseera by’ennaku enkulu mu bivvuli ebitali bimu

Kino poliisi erabika etandise okukituukiriza nga basajja baayo abakola ku by’obutujju bakedde kweyiwa ku ttendekero lye Makerere nga bakebera buli ayingira n’afuluma.

Baleese n’embwa ezikonga olusu nga zino zikebedde ekifo kyonna

Akulira poliisi ye Makerere, Michael Mugabi agamba nti kino kyakubaawo okutuusa ng’embeera eteredde n’asaba abayizi okukolagana nabo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *