Amawulire

Abatta owa mobile money e Zana basimbiddwa mu kaguli

Abatta owa mobile money e Zana basimbiddwa mu kaguli

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah , Abantu 5 omuli na baaliko abajaasi b’eggye ly’eggwanga 3 bebasimbidwa  mu kkooti ya bannamagye e Makindye ne bavunanibwa emisango gy’okuba nga be batta omusubuzi wa mobile money mu bitundu by’e Zana Harriet Nalwadda.

Okusinzira kw’akulembeddemu oludda oluwaabi mu kkooti y’amagye eno Leutnant. Cololonel Rapheal Mugisha nga ennaku z’omwezi 10th June 2019  wali mu bitundu by’e Zana  abateberezebwa bano bakuba Nalwadda ne munne Moureen Nakabubi amasaasi agabatiiraawo.

Mungeri yemu bavunaniibwa omusango gw’okubba ensimbi obukadde 6 mwe mitwalo 800 ezaali eza Nalwadda kati omugezi nga bakozessa ekika kye mmumdu SMG nayo gye balina mu bukyamu.

Kati basindikidwa kwa limanda e Luzira okutussa nga August 5th  nga n’okunonyerezza bwe kugenda maaso.