Amawulire

Abateberezebwa okwenyigira mu kutta abantu e Masaka 10 basindikibwa mu Komera

Abateberezebwa okwenyigira mu kutta abantu e Masaka 10 basindikibwa mu Komera

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Omulamuzi omukulu owa kkooti e Masaka, Charles Yeteise, asindise ku alimanda abantu 10 abateberezebwa okuba abamu kwabo abagenda batemu abatuuze mu bitundu ebyobwagagavu bwa Masaka omufiiridde abantu 28.

Bano bavunanibwa gwa butemu nokugezako okutta abantu, basindikibwa ku alimanda mu komera ku Ssaza okutuusa nga September 15

Oludda oluwaabi lugambye kkooti nti bano bebamu kwabo abazze batta abantu e Masaka ne Lwengo

Abavunanwa kuliko Christopher Sserwadda 23 omutuuze we Mpugwe in Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze be Ssetaala, Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda, Kaboyo Henry bonna batuuze be Byanjiri e Lwengo na balala.

Abavunanwa begaanye emisango egibasomeddwa ate ne balopera omulamuzi okuba nti batulugunyizidwa byansuso mu kadukulu ka barracks ye Kasijjagirwa gye babadde bakuumibwa.