Amawulire

Abateberezebwa nti baali bategeka obutujju mu kuziika omugenzi Lokech bavunaniddwa

Abateberezebwa nti baali bategeka obutujju mu kuziika omugenzi Lokech bavunaniddwa

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abantu 3 abateberezebwa nti beeali bategeka okukola obutujju nobwanalukalala mu kuziika, eyali amyuka Ssabapoliisi wegwanga Gen Paul Loketch e Pader basimbiddwa mu kooti ya Buganda Road nebavunanibwa, oluvanyuma nebabasindika ku alimanda mu kkomera lye Kitalya.

Abavunaanwa kuliko Rashid Katumba owemyaka 21 nga makanika wamasanyalaze era omutuuze we Masajja mu Kibiri zone e Makindye, Najim Luyenjje agent wa mobile money e Kijjabwami mu Masaka ne Arafat Kiyemba owa welder e Mengo mu Kisenyi mu Kampala.

Bano baakwatibwa wakati wanga 2 ne 3 omwezi oguwedde.

Baguddwako emisango 3 okuli obutujju, okubeera nebintu ebyobulabe nokubeera ba memba mu kibiina kyabatujju, ngoludda oluwaabi lugamba nti emisango baajizza wakati wa May ne August omwaka guno.

Okusinziira mpaaba eyavudde ewa Ssabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo, gino gyemisango omulamuzi Doreen Kalungi gyasomedde abavunaanwa nga bagidiza ku Atimikica Guest House e Pader.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano ba memba mu batujju aba ADF,  nga 26 August mu 2021, basangibwa nebintu ebyobulabe ebikozesebwa okukola bbomu nebiralala ebyekuusa ku bujaasi.

Kati baakudda nga 19 Novemba mu 2021, bamanye okunonyereza wekutuuse.