Amawulire

Abatambuza ebifananyi bya Boomu ebyóbulimba bakukwatibwa

Abatambuza ebifananyi bya Boomu ebyóbulimba bakukwatibwa

Ivan Ssenabulya

November 18th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Gavumenti eragidde poliisi okukwata omuntu yenna atambuza ebifananyi ebitali bya butujju obwakolebwa ku lwokubiri lwa ssabiiti eno ne kigendererwa ekyokutiisa bannansi.

Abatujju bakuba Boomu bbiri ku lwokubiri emu yabwatukira ku CPS ate endala ku luguudo lwa Parliament Avenue, abantu 7 bebafudde ate abalala abasoba mu 30 ne balumizibwa

Mu kwogerako ne bannamawulire ku Uganda Media Center, minisita owebya technologia Chris Baryomunsi, agambye nti waliwo bannauganda abatandise okutambuza obutambi bwa video nga tebukwatagana nebyo ebyaliwo ku lwokubiri nga Bagala kutiisa bannabwe.

Ono agamba nti ebifananyi ebimu babiggya kubyo ebyaliwonóbubenje obwagwa mu mawanga amalala nga bwebalimba banabwe nti byebabaddewo mu bulumbaganyi bwa boomu.

Baryomunsi agambye nti gavt eriko beyategedde abatambuza obutambi buno nasaba poliisi ebakwate.