Amawulire

Abatali basomesa ku yunivasite balemeddeko

Abatali basomesa ku yunivasite balemeddeko

Ali Mivule

August 10th, 2016

No comments

 

non teachingAbakozi abatali basomesa mu yunivasite za gavumenti sibamativu ne sitetimenti minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni gyeyawadde eri palamenti eyalaze nga gavumenti bw’egenda okusasula emisaala gy’abakozi bano egy’emabega olunaku lw’enkya nga bwebakyateesa ku ky’okubongeza.

 

Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi bano Jackson Betihama agamba ssibamativu nabino.

Agamba baagala gavumenti esooke etangaaze ku byokubongeza omusaala nga tebanayogera ku byakusasula ssente zaabwe ez’emabega nga awatali ekyo bakugenda mu maaso n’akediimo kaabwe.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *