Amawulire

Abatakisi bakaaba

Abatakisi bakaaba

Ali Mivule

May 12th, 2014

No comments

Taxis parked

Wabaddewo akavuvungano nga poliisi etwalaganya abagoba ba taxi ababadde bakyesisigalizza okukolera wali ku siteegi y’e Nsambya kumpi n’ebitaala.

Aba KCCA abakwasisa amateeka nga bayambibwako poliisi basobodde okusinza aba taxi bano amaanyi nebabalagira okwamuka ekifo kino boolekera paaka ya USAFI.

Taxi ezikoseddwa kwekuli ezikwata olw’eMunyonyo, Ggaba, Bbunga ,Kansanga n’endala

Adumira poliisi ya CPS James Namuwoza  yakulembeddemu ekikwekweto kino era nategeeza nga poliisi bweyokugenda maaso n’okuyAmba KCCA okukola ogwayo.

Wabula bbo aba taxi betwogeddeko nabo basigadde bakukuluma.

Mungeri yeemu Siteegi okuli ey’e Lyantonde ne Masaka nazo zijuluddwa okuva mu paaka enkadde okudda mu ya USAFI.

Gyebuvuddeko KCCA yalabula bwetagenda kukiriza taxi yonna ettikira ku kubbo era nebalagira bonna bagende mu paka ya USAFI nga era siteegi ezisinga ku kubo zajululwa.