Amawulire

Abataasoma bagaala kuyingira palamenti

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Kadaga

Abataasoma wansi w’ekibiina kyaabwe ekibagatta bagaala kufuna bakiise mu palamenti

Bano baliko omukuku gw’ebbaluwa gwebakuutidde sipiika Kadaga nga bagamba nti basuuliddwa emabbali okumala ebbanga

Abakulira John Bukenya agamba nti bannabyabufuzi babakozesa mu bululu kyokka nga tebakola ku bibaluma.

Bagala bafune omukiise mu buli kitundu kubanga ono y’anatuusa ensonga zaabwe mu palamenti